Isaiah 34:5-15


5 aWeewaawo ekitala kyange kinywedde ne kijjuzibwa mu ggulu,
era laba, kikkira ku Edomu okusala omusango,
abantu be mmaliddewo ddala.
6Ekitala kya Mukama kisaabye omusaayi,
kiriko amasavu,
omusaayi gw’abaana b’endiga n’embuzi,
amasavu agava mu nsingo za sseddume.
Mukama alina ekiweebwayo mu Bozula,
era waliyo n’okuttibwa okw’amaanyi mu Edomu.
7 bEmbogo zirifiira wamu nazo,
n’obute obulume, ne ziseddume zirifiira wamu nazo.
Ensi yaabwe erijjula omusaayi,
n’enfuufu erinnyikira amasavu.

8 c Mukama alina olunaku olw’okuwalanirako eggwanga,
omwaka ogw’okwesasuza, olw’ensonga eya Sayuuni.
9Emigga gya Edomu girikalira ne gifuuka bulimbo,
bulimbo kifaanana ng’ennoni

n’enfuufu ye erifuuka ng’obuwunga bwa salufa ayokya.
Ensi ye erifuuka ng’obulimbo
bulimbo kifaanana ng’ennoni
obuggya omuliro.
10 fTalizikizibwa emisana n’ekiro,
n’omukka gwe gulinyooka ennaku zonna.
Edomu alisigala kifulukwa emirembe n’emirembe,
era tewaliba n’omu ayita mu nsi eyo.
11 gEkiwuugulu eky’omu ddungu n’ekiwuugulu ekireekaana, birikibeeramu.
Ekiwuugulu ekinene ne namuŋŋoona birizimbamu ebisu byabyo.
Katonda aligololera ekipimo eky’okwewunika,
n’ekipimo ekinaaleka Edomu nga njereere.
12 hAbakungu be tebalibaako kye bayita bwakabaka,
n’abalangira be bonna baliggwaawo.
13 iAmaggwa galimera ku minaala egy’ekibuga kye,
n’emyennyango n’amatovu ne bimera mu bigo bye ebyanywezebwa.
Aliyiggibwa ebibe,
era ebiwuugulu birimufuula ekifo eky’okuwummulirangamu.
14 jEnsolo ez’omu ddungu gye zirisisinkana empisi,
n’embuzi enkambwe ez’omu nsiko gye ziriramusiganyiza.
Era eyo ebisolo ebitambula ekiro nabyo biriwummula
nga byefunidde ekifo eky’okuwummulirangamu.
15 kEkiwuugulu kiribiikira eyo amagi,
ne kigaalula,
ne kirabirira abaana baakyo wansi w’ekisiikirize kyakyo.
Era eyo ne kamunye gy’alikuŋŋaanira, empanga n’enseera.
Copyright information for LugEEEE